MAGNIFICAT (Fr.
Joseph Namukangula)
1. Omwoyo gwange, gugulumiza Omukama, //n'emmeeme yange ejaguliza//
Mu Katonda, mu Katonnda, mu Katonda mulokozi wange.
2. Kubanga yatunuulira obwetowaze bw'omuzaana we, okuva leero
amazadde gonna ganampitanga wamukisa, kuba //nyini Buyinza//, yankolera
ebinene, n'erinya lye Tukuvu nyo.
3. Ekisa kye ku bamutya, kibuna amazadde n'amazadde, omukono gwe
yagukoza eby'amanyi, abaali bekuza mu birowoozo byabwe, yabasaasanya,
yabasaasanya, yabasaasanya, yabasaasanya.
4. Ab'obuyinza yabajja ku ntebe, n'agulumiza abatene, abayala yabajjuza
ebirungi, abayala yabajjuza ebirungi, ebirungi, ebirungi ebyo, abagagga
n'abaleka buggo.
5. Yalyowa Yisirayeri omuweerezaawe, ng'ajjukira ekisakye, nga
bweyagamba ba jjajja ffe, nga bweyagamba ba jjajja Yibraimu, n'ezzadde lye
emirembe gyonna, emirembe gyonna mukama Katonda waffe, Amiina,
Amiina, AminaX5
MBEERA GGWE, GGWE WANTONDA (Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Mbeera Ggwe, Ggwe wantonda, Mbeera Ggwe, Ggwe wantonda,
Ayi Mukama, ddala ddala nkukkiriza! L
1. Nkedde ku makya, ayi Mukama Ne ndeeta gy‟oli ebirabo byange bino
Bikkirize, bibe Ekitambiro.
2. Kati ekindeese kutambira Mwenna aboluganda, munnyambe, Tube
wamu, tuweereze Ekitambiro.
3. Abeli ne Jjajja Yibraimu Era Melekisedeki, bye baakuwa wabisiima, Naffe
bye tuleese, bikkirize!
4. Guno omugaati n‟evviini, ayi Mukama, Ddala bye ndeese eyo gy‟oli
Obitukuze, bibe Ekitambiro.
5. Laba, nneewaddeyo, ayi Mukama, Byonna by‟oyagala, nnaabikolanga
Naawe ng‟ombedde, byonna nnaabikola, tibinneme!
369. EMPEERA Y’ABAGOBERERA
KRISTU(Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Bw’omwewa Omukama, ne weemaliza Omukama
Talikujuza Omukama oyo, talikujuza emirembe.
1. Abamugoberera ….Talibajuza emirembe
Talibajuza ………….Yabasuubiza okubaweera mu nsi muno ne gye
Bujja.
2. Entalo zo alizirwana, obulamu bwo alibukuuma, Talikujuza emirembe,
Aliba wuwo Omukama, aliba wuwo, naawe olibeera eyo, eyo mu ggulu. X2
I Buli eyeevamu n‟amugoberera alimuwa – empeera
Ii Buli eyeeresa ebyensi eno alimuwa – empeera
Iii Buli alireka n‟abazadde alimuwa – empeera
Iv Buli alireka n‟emikwano alimuwa – empeera
V Buli alireka n‟abaana alimuwa – empeera.
1. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana,
Ku mpeera y‟abalungi emirembe.
2. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana,
Ku mpeera y‟abanyiikira obutoosa.
3. Olifuna kikumi ku nsi kuno ne gye bujja, oligabana,
Ku mpeera y‟abalwana abazira.
N‟omusalaba olifuna – n‟obonaabona
N‟obonaabona ku lulwe – olwa Kristu
N‟ebizibu olifuna – ogumanga
Ne weewaayo ku lulwe – eyakuganza
//Osaana onywerere ggwe – ku Katonda
Omusaalaba togutya – gwe gulokola.// x2
Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera ng‟omusenze.
Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera ng‟onywedde.
Omukama Yezu alikuwa, alikuwa empeera bw‟omwewa.
Kwata ekkubo ery‟akanyigo, kwata ekkubo era effunda
Nywera ssebo, ggwe toddirira.
Alikutwala obeere waggulu eri, waggulu awaladde ng‟omuli ku gwa ddyo.
Ddunda alikuwa empeera, …….. alikuwa,
Ddunda alikuwa empeera …….. alikuwa,
Alikuwa, empeera.
KATONDA Y’ALONDA (Fr. Expedito Magembe)
Refr.
Mu busaserdooti- Katonda y’alonda
Mu busaserdooti- Katonday’atuyita
Mu busaserdooti- Katonda y’alonda
Yegw’asiimye, ye gw’ayagala, gw’alonda.
1. Naye atubuuza obanga tukkiriza-ddala ddala era atubuuza tawaliriza
n’omu
Tawaliriza…………………Tawaliriza n’omu,//(x2)
Ani gwe nnaatuma agende ng’alangirira Ani gwe nnaatuma akulembere
abantu bange abo nze nnaatuma ani?
Refr.: Nzuuno ntuuse Mukama wange nze, NTUMA
Nzuuno, ntuma nze, gw’olonze (x2)
Nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, abeere omubaka
wange? Nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, mbuuza abange, nze
nnaatuma ani?
Refr.: Nzuuno ntuuse Mukama wange nze, NTUMA
Nzuuno, ntuma nze, gw’olonze(x2)
2. Buli eyeewaayo ye wange
Buli eyeevaamu gwe nsiima
Okwagala okubeera owange
Kyokka abeevaamu ba munyoto
Abansenga be bangi
Abannywererako ba lubatu
- gwe nnoonya
- gwe nnonda
- kwa bonna
- ba munguuba
- buli wantu
- batono ddala.
Ani gwe nnaatuma ani, agende ng’alangirira, Ani gwe nnaatuma akulembere
abantu bange abo nze nnaatuma ani? Nzuuno ntuuse Mukama wange….
3. Laba mmalirira Mukama wange nnevuddemu, naawe ng’onnyambye
nneewaddeyo.
Nze mmalirira Mukama wange nkulagaanya, nzuuno nze nkwewa ndi wa
lubeerera.
Ebyo ebizibu Mukama wange ebirijja, sigenda kunyeenya nneewaddeyo
Nze mmalilira Mukama wange nneevuddemu Nzuuno mmaliridde nze ndi
wuwo.
Mu busaserdooti…….
4. Mwoyo ow’amaanyi nze gwe nkuwa, era n’omukono gwange nga
gukugumya Genda okulembere abantu bange.
Refr.: Nzuuno ntuuse Mukama wange Nze, - NTUMA Nzuuno, ntuma nze,
gw’olonze.
Osiigiddwa ggwe n’oyawulwa, oli kabona wange ggwe nnonze. Genda
olangirire ekigambo kyange.
Oli Musaserdooti olubereera, sigenda kwejjusa era nkirayira Genda olambike
abantu bange.
Oli Musaserdooti wa mirembe-nga Melekisedeki ow’emirembe. Genda
okuluusane muganzi wange.
5. Ebitambiro ebyokye tewabyagala - Laba nzuuno nze ka nkole by ‘osiima
by’oteesa. (x2)
6. Laba mmalirira Mukama wange nneevuddemu, naawe ng’onnyambye
nneewaddeyo.
Nze mmalirira Mukama wange nkulagaanya, nzuuno nze nkwewa ndi wa
lubeerera.
Ebyo ebizibu Mukama wange ebirijja, sigenda kunyeenya nneewaddeyo.
Nze mmalirira Mukama wange nneevuddemu. Nzuuno mmaliridde nze ndi
wuwo.
Mu busaserdooti…